Gw'oli Mutukuvu (Hymn to the Trinity)

Ggwe oli mutukuvu, Mukama Katonda
Enkya tukusuuta, tuyimba ettendo lyo
Gwe oli Mutukuvu, wa kisa, wa maanyi
Katonda omu, ye Tiriniti

Ggwe oli mutukuvu, Bakusinza bonna
Abali mu ggulu bakuvunamira
Kkerubi ne Sserafi bakutendereza
Eyali, aliwo, alibeerawo

Mutukuvu wekka, tewali mulala
Ffe ab'omu kizikiza, tetukulaba nnyo
Ggwe oli mutukuvu, obasinga bonna
Amaanyi, amagezi, era n'ekisa

Ggwe oli mutukuvu, Mukama Katonda
Byonna bye watonda biraga ettendo lyo
Ggwe oli Mutukuvu, wa kisa, wa maanyi
Katonda omu, ye Tiriniti



Credits
Writer(s): Pyotr Ilyich Tchaikovsky
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link