Oli Wange

Nakooye okumira amalusu nange
Nakooye okutunuulira abo abalina abaabwe
Nebasolobeza nga nze bwensaalirwa
Nasobose omugga gw'abaalemwa
Nengobera kulukalu lwaabo abawanguzi
Kati nange bwentuula mu bantu mpulira njaamu
Byona byona byebabadde bansuubiza
Ensi n'eggulu olwo nendoba
Mbifunidde mu kino etitereke ky'omukwaano
Oli wange (Ne bwebananvuma)
Oli wange (Ne bwebanankub'emiggo ne bangoberawabweeru)
Ngenda naawe
Oli wange (Ne bwebananvuma)
Oli wange (Ne bwebanankub'emiggo ne bangoberawabweeru)
Ngenda naawe

Kati mukwano nno tuula ogume okakkane
Nze omanyi ndiba wuwo kiro na misana
Endowooza n'omutima gwange siribikyuusa
Buli wonjagalira mukwano ndibeeraawo wooli
Ebikuluma ng'ombuulira nange nkubuulire ebyange
Akaseko akalungi ku maaso ago tokamalangako bwooba oli eyo
Kimanye nti nange eno gyendi nsigala nkalinze mukwano
Oli wange (Ne bwebananvuma)
Oli wange (Ne bwebanankub'emiggo ne bangoberawabweeru)
Ngenda naawe
Oli wange (Ne bwebananvuma)
Oli wange (Ne bwebanankub'emiggo ne bangoberawabweeru)
Ngenda naawe

Njagala tufune ekiritwaawula kubalala abaliyo abeeraga mbu baagalana
Nga kumbe bwebadda ewaka babeera mukuwoza misango
Tusabe Rugaba atuyambengako ebituteganya abitumenyeremu mukwano
Oyo yasinga abasinga naffe bwetumwesiga anatuwanguza
Oohh sember'eno (omulungi) beera kumpi
Okumpi nange, tombeera bunaayira
Sember'eno (omulungi) beera kumpi
Oooh, tombeera bunaayira

Oli wange (Ne bwebananvuma)
Oli wange (Ne bwebanankub'emiggo ne bangoberawabweeru)
Ngenda naawe
Oli wange (Ne bwebananvuma)
Oli wange (Ne bwebanankub'emiggo ne bangoberawabweeru)
Ngenda naawe

Credits
Writer(s): Rema
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link