Wakayima

Oh God!
Cmert Keys
On the beat
Wakayima wakayima
Magezzi ga wakayima
Coopy Bly again, yeah
Wakayima wakayima
Bintu bya wakayima

Magezi ga wakayima (wakayima)
Bwogakozesa osinga n'abachina (oh God!)
Magezi ga wakayima
Ne wampologoma yamegebwa wakayima
Magezi ga wakayima (wakayima)
Bwogakozesa osinga n'abamerika (oh God!)
Magezi ga wakayima (gwe!)
Ne wampologoma yamegebwa wakayima (alright den)

Nti wakayima gyeyali essula
Kabodde wampologoma nga abatulugunya anti anha (kabodde)
Anti amanyi go alina
Kyayogera ku kyaalo tewaba amuwakanya, kati laba
Yakera era nateesa, berondemu buli kumakya gwanalya (eh eh!)
Nga welutuka olunaku lwo lwolibwa
Okera kumakya nogenda ewuwe nafenka (ohoh)
Wante yakaba nyo, yakaba yamala era nalibwa eh
Ne wankyima nakolima ebikolima tebita kamunye ne bamufenka kati laba
Olwa wakayima lwo nelutuka
Nga anawona okulibwa era bwabeera (akola atya?)
Lwalibwa lwakera nayiya, amagezi agazza wampologoma ezirakumwa

Magezi ga wakayima (wakayima)
Bwogakozesa osinga n'abachina (oh God!)
Magezi ga wakayima
Ne wampologoma yamegebwa wakayima
Magezi ga wakayima (wakayima)
Bwogakozesa osinga n'abamerika (oh God!)
Magezi ga wakayima
Ne wampologoma yamegebwa wakayima (an-ha)

K'olwo wakayima yasula nga abalirira
Obwongo bwesera teyebaka nga balala
Wampologoma eno amwesunze alinda munyama
Wakayima watukira ebibuuzo ne bamusoya
Nti wakayima, kiki oludeyo wakayima?
Bansonyiwe waliwo andese nga ampalabanya
Nti naye gwe wakayima (hmm!)
Ani oyo anvuganya wakayima!
Eh! Ku mugga waliyo empologoma endala
Kabodde nanyigga obusungu ne bulinya
Ani oyo akomba mu sowani yemu mwendira
Ntwalayo ku muga gy'omulabye gy'abeera
Nsoke mukube mugunjule ategere nze asinga
Ku muga bakirira bamala era batuka
Wampologoma amanyi alina amagezi gagana
Bwatunula mu mazzi ye no nalabamu empologoma endala
Bwagwamu ajjilume yaffabufi wakayima nawona (gwe!)

Magezi ga wakayima (wakayima)
Bwogakozesa osinga n'abachina (oh God!)
Magezi ga wakayima
Ne wampologoma yamegebwa wakayima
Magezi ga wakayima (wakayima)
Bwogakozesa osinga n'abamerika (oh God!)
Magezi ga wakayima (gwe!)
Ne wampologoma yamegebwa wakayima (an-ha)

Wakayima wakayima
Magezzi ga wakayima
Coopy Bly again, yeah
Wakayima wakayima
Bintu bya wakayima
Anyway!
Ekyobugaga ekisinga kuba kuba n'amagezi
Ekya kabi ekisinga era butaba n'amagezi
Ekyawonya wakayima kuba n'amagezi
Ekyasa wampologoma era butaba n'amagezi
Bwatunula mu mazzi alaba kifanyi kye
Amagezi amatono gamugamba oyo mulabe we
Bwatyo Dawudi era bweyakuba Goliath
Wesiga mukama oli yesigama ku maanyi
Wampologoma yaffa, ka wakayima katono kati ketunyumya (eh eh)
Ne Goliath bweyafa, ka Dawudi akavubuka kati ketuwaga
Mu kutya mukama amagezi mwegasokera
Atalina fukamira osabe mukama yagaba
Tooba nga wampologoma, wesige oyo agaba amagezi ojja kuwangula (eh!)

Magezi ga wakayima (wakayima)
Bwogakozesa osinga n'abachina (oh God!)
Magezi ga wakayima
Ne wampologoma yamegebwa wakayima
Wakayima wakayima
Wakayima
Wakayima wakayima
Wakayima
Skillz



Credits
Writer(s): Sserwanga Edwin
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link