Ye Ggwe Ansingira

Ye ggwe ansingira abangi Mukama oli wala
Kyenvudde ngera akadde nkusinze ongabirira
Kabaka nkusaba osiime saddaaka eno gyendeese
Emmeeme emenyese wang'amba tojigayenga
Ye ggwe ansingira abangi Mukama oli wala
Kyenvudde ngera akadde nkusinze ongabirira
Kabaka nkusaba osiime saddaaka eno gyendeese
Emmeeme emenyese wang'amba tojigayenga

Emirembe gyompadde obukuumi bwompadde
Ekigambo kyondiisa olugendo lwondeese
Bwendowooza gyontwala nga ndaba ne byoleeta
Ondaga ekisa nsinze nga ntegeera gwensinza

Onnyamba n'ontaasa nga nsing'aanye ebintiisa
Onnambuula n'onfaako nga nsiitaana n'ebyensi
Nze nnaakwesiganga nnyo onsingidde n'anzaala
Nze nsaba abakwegaana bandabe nga bwonkyusa

Lwempabye ne lwenkyamye ontereeza nentuuka
Lwa ndagaano mw'ontadde omponya okuweebuuka
Lwenneezooba n'olumbe oba bantu abanteeka
Nze ontengudde n'emmeeme nze nkusuuta nenkeesa!



Credits
Writer(s): David Kateeba
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link