Ebitubaako

Ebitubaako,birumya emmeeme, binyiga,ngojula kwetuga
Ensi nefunda,bwetyo n'ekaluba newetamwa newebuuza walyaki
Ng'oli awo wekka bwomu bwoti weegomba,ofuneyo akufaako
Naye ekibi, bano bantu bannaffe bwalaba nga waggwaamu ngakwewala
Ssuubi lyange nditeede mwoyo katonda wange atandekerera
Entalo zange zonna mwendi katonda wange yanazinwanira.

Oyo yantegeera ebyange gwembikwasa nnawummula ebya stress nembita
Oyo gwembikwasa kubanga yantegeera nnawummula ebya stress nembita

Oluusi wewaayo ofube okusanyusa abalala, neweelumya olwokuba omwagala
Bwotyo nositula emigugu gyebandyetisse babuwe olwomutima omwagazi
Mutima munda nolowooza,nolowooza nti okoze ekitundukyo, kyebalijjukira
Okwandibadde ngokusiima,bazza bukyaayi newenyiwa kale
Toga n'abantu tunuulira Oyo byokola abisiima olifunamu empeera
Tokoowakoowa okukola obulungi,katondawo ye ebyo byokoze abisasula

Kisaananyo,okuba omwetowaze mubyokola kwossa nobwesigwa
Osonyiwanganyo eri abakunyiiza,basembeze togeza kubeewala
Tomanyi nabyankya bwebiriba ebyo olwaleero akujeeza enkya oliba mukamawe
Towooleranga nebwaba bingi byakkoze mukwase katonda yanaamuwangula
Mutima gwange tegeera ekyo kuuma kitiibwa kyo olifunamu obuwanguzi
Kkakana munsi gulumiza oyo katonda yekka yanakuyimusa



Credits
Writer(s): Segawa Andrew
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link