Mukama Ninzeeko

Mukama ninzeeko tulabe
Wagamba lwolijja bikome
Ebinji ebitiisa
Otulo netugaana
Abalala gyebebakira nga otunula
Kyenkana nobaanga alira
Nya bikambwe nyo bweguli
Ye lulikya ddi
Lwewatusubiza netuwonako

Tunywereze essubi lyetulina mugwe
Nti eyo gyetugenda
Tebirilabikako bino byetulaba ebitunyiga
Tunywereze essubi lyetulina mugwe
Nti eyo gyetugenda
Tebirilabikako bino byetulaba ebitukunya

Mutima nekanze mukiro
Era okugugumuka kwekiva
Nga ndaba olugendo lulina welutuse
Nekubo nelibulawo kyokka nga tonaba
Muli nenebuza nti bino mulabe byatukoze entakera
Yebirigwa ddi tubereko naffe emirembe

Mukama olinze ki otuke
Eno tuffa tugwawo tuwedde
Mulabe natukunya nakamula nayanika
Abalala neberolera ebye bibanyumira
Erinya lye watuwa nti balonde bo
Nga tulifudde ekirala
Tusasire osonyiwe
Naye otutuse eyo gyobera



Credits
Writer(s): Segawa Andrew
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link