Lukusuuta

Nkwebaza makubo g'ogadde
Weebal(e) essaala z'otazzeemu
Ne byensabye n'otabimpa
Ondaze nti ggwe Katonda
Nkwebaza bulumi mw'ompisa
Weebale kuba tebumazeewo
N'abandese nebagenda
Nze manyi olina ensonga
Oluyimba lukusuuta (oluyimba lukusuuta)
Ondaze nti ggwe Katonda
Ekitibwa kikugwana
Weebal(e) amakubo gogadde
Nze mmany(i) olina ensonga
Oluyimba lukusuuta (oluyimba lukusuuta)
Ondaze nti ggwe katonda
Ekitibwa kikugwana (luno oluyimba lukugwana)
Weebal(e) amakubo gogadde
Nze manyi olina ensonga
Ndowooza mu magezi gange nty'oba tokola
Bulumi mu mutima gwange nabwo busuka
Mmenyeka nenserera ng'olumu wabula
Oluyimba lukusuuta (nekitibwa kikugwana)
Nebwolitwala byonna byewampa ggwe wabimpa
Nkusaba kimu ompe bulamu ebyo birikoma
Wansi mu mutima gwange mmany(i) okiraba nty'oluyimba
Lukusuuta
Ndowooza mu magezi nty'oba tokola
Bulumi mu mutima gwange nabwo busuka
Mmenyeka nenserera ng'olumu wabula
Oluyimba lukusuuta
Nebwolitwala byonna byewampa ggwe wabimpa
Nkusaba kimu ompe bulamu ebyo birikoma
Wansi mu mutima gwange mmany(i) okiraba nty'oluyimba
Lukusuuta
Byokka ebikusanyusa bikolebwe mu bulamu bwange byokka
Byoyagala
Ndiwano salawo nga bwolaba ggw(e) amanyi lwaki natondebwa
Nze era lwendigenda
Ggw(e) amanyi makubo amalungamu
Mmokka mwembeera mpita at(e) nga ndi naawe
Ndowooza mu magezi gange nty'oba tokola
Bulumi mu mutima gwange nabwo busuka
Mmenyeka nenserera ng'olumu wabula
Oluyimba lukusuuta
Nebwolitwala byonna byewampa ggwe wabimpa
Nkusaba kimu ompe bulamu ebyo birikoma
Wansi mu mutima gwange mmany(i) okiraba nty'oluyimba
Lukusuuta
Ndowooza mu magezi gange nty'oba tokola
Bulumi mu mutima gwange nabwo busuka
Mmenyeka nenserera ng'olumu wabula
Oluyimba lukusuuta
Nebwolitwala byonna byewampa ggwe wabimpa
Nkusaba kimu ompe bulamu ebyo birikoma
Wansi mu mutima gwange mmany(i) okiraba nty'oluyimba
Lukusuuta
Oluyimba lukusuuta
Ekitibwa kikugwana
Weebal(e) amakubo gogadde
Nze mmany(i) olina ensonga
Oluyimba lukusuuta
Ekitibwa kikugwana
Weebal(e) amakubo gogadde
Nze mmany(i) olina ensonga



Credits
Writer(s): Ronnie Magezi
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link