Mwagalane

Mukwano guleeta ddembe nassanyu temubaamu kwesojja
Ensibuko yagwo yenyonyola nga ye katonda eh
Ekinyiiza bebaguvumaganya nebadda mukwesooza
Ebyo byebireeta empise envundu abalala nebaguta
Naye nze mbasaba temukigeza wakiri ogenda ha
Eri nyini gwo anabalungamya engeri gyemuyinza okubyenganga

Mwagalane musanyuke ffeeno tusomese
Abagwonoona njagala bakimanye
Babizanyiramu buli agulina si gwakujaajamya
Mwe mukirage omukwano gutinte ehe
Ekirala mujulire abantu bano
Bakimanye nti kirabo kya ggulu

Munzijukiza omulezi oli eyakula nga yepanka
Mbu nze setaaga muyambi nemalirira
Kyali kiki ekimuwakankulayo okulinya ate eze kyera
Nalyoka asanga ekimyula embaga netugirya eh
Guli gwasuka gwava mugulu si mu bantu
Sayansi wagwo mwewuunya
Nnebakakensa omunyonyola kizibu



Credits
Writer(s): Segawa Andrew
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link