Koma Ku Mbeera

Naye laba bwemboyana otunula
Laba bwempamante meeme
Mutima bwegundakasidde ninga obwakyaaka
Mukama wanyiga nyoo
Luli waberangawo nongumya
Buli lwenkwetaze nojja
Kilabika ebibi byange
Byebya kukwesa amaaso go

Yamba Mukama koma kumbeera kisuse
Olaba ntuse nokusaba
Oneyoleke nkulabe
Nga omanya olwo kiyise wetuyinza

Muli kale sikiganye nkusobya
Omwoyo nagezaako ankomeko
Naye era nenkakanyala bwentyo ne setani nasiima
Mukama ngudde nyoo
Ensi entulugunyiza njinyumya
Mu mwoyo nensiriira nzigwawo
Nsituse nzize jooli Nkusaba tokisanga maaso go

Ku mwoyo gwange njayana nyoo okubifuna
Naye nebwenfuba era nemelerwa
Olwa nemberera bwentyo nenkoma kubyegomba
Ensi nga nkabwe nyo
Njilaba engoyeza nginyumya
Ku mwoyo nembulwako emirembe
Mukama nzize jooli Nkusaba taasa embeera



Credits
Writer(s): Segawa Andrew
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link