Viola

La la la la la la la lala
La la la la la
La la la lala lala

Kityo bwoba ng'otuse
Ngendera e Bulange
Ondabire nyo Violet
Nti mutumidde bambi
Omuwe na akafananyi
Kano bambi alabengako
Viola, ambe nga mu-mmeme
Nange mube nga mu mmeme
Alina akabiri Violet
Akayooyofu bambi
Okwo kwoosa akayindo
Akaalo, oh sweet
Bwenzijukira erinyalye
Okulyogera mpoomerwa
Kale ndeke ono nganzze ani?
Mpozi ddalu nga lyerize

Mubulire nti ebulaya
Bawala bangi abalungi
Ekyo te kimutiisa, Viola malayika wange
Gamba Viola, nti mwagala
Gamba Viola nti agume ndidda
Kubanga nange gyendi, mukumidde obwesigwa

Kasita ebulayo myeezi
Ebibuuzo mbituule
Kansubire okubiyita
Lugaba aliba anyambye
Mukakese nti mwagala
Talowooza nti ndingisa
Anti yansiba ku mmeme
Ate era yansula ku mmeme
Nzikiriza okukyuka, nakyo ekyo ki mugambe
Akimanyee bambi, nti bwenasubiza salimba
Tewaliba alinenya, kasita Katonda yoomu
Sifa ku bayengesa ngambo
Wabula Voila gwenfaako

Mubulire nti ebulaya
Bawala bangi abalungi
Ekyo te kimutiisa, Viola malayika wange
Gamba Viola, nti mwagala
Gamba Viola nti agume ndidda
Kubanga nange gyendi, mukumidde obwesigwa

Lalala lala la la la
La la la lalala
Lalala lala la la la
Lalala lala la la la
Awumule mirembe, Elly Wamala
Untill mu ever green
Oh nanana Viola oh, eh-eh yeah

Kityo bwoba ng'otuse
Ngendera e Bulange
Ondabire nyo Violet
Nti mutumidde bambi
Omuwe na akafananyi
Kano bambi alabengako
Viola, ambe nga mu-mmeme
Nange mube nga mu mmeme

Mubulire nti ebulaya (nti ebulaya)
Bawala bangi abalungi (abalungi)
Ekyo te kimutiisa, Viola malayika wange
Gamba Viola, nti mwagala
Gamba Viola, nti agume ndidda
Kubanga nange gyendi, mukumidde obwesigwa (lalalala)



Credits
Writer(s): George Kigozi
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link