Ensi Eya Leero

Bwentunulidde ensi eyaleero yafukuuka
Kinno nkibalamu emirundi egiwelako
Mitima gyafa
Kitalo abantu batta baluganda
Okwagala enno bakutundayo dda
Ekibi nga kyetanilwa bangi
Munsi tekyali wakubeera
Endwadde enkambwe zakututa
Enjala etigomya na mawanga
Tulibanafu tuyambe
Gwe Yesu ensulo yamanyi

Taata tuyambe tugumila kugwe
Ffeffeka haha teli kulungi kavvamu
Twesiga gwe taata mazima obiyinza
Gwe jangu owonye
Era otuwe emirembe

Laba tewali akilizze ebyaleero ne mu maaso oh
Dembe eryaliwo naye kati lufumo
Ensi bwetyo oh
Kulwaana kuli nemubalondde
Gunno omunyo guweddemu ensa
Ekitiibwa kiweddeyo enno tusaba buyambi tutaasa
Yegwensibuko ye birungi
Esaala yaffe kitange
Onywezze okwagala muffe
Era edembe lireete



Credits
Writer(s): Segawa Andrew
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link