Katonda Tukutenda Ggwe

Katonda tukutenda ggwe
Tukkiriza obukama bwo
Aleruuya Aleruuya
Ayi Kitaffe ataggwawo
Ensi zonna zikusinza

Aleruuya Aleruuya
Aleruuya Aleruuya Aleruuya

Abakukoowoola ennyo
Be bamalayika bonna
Aleruuya Aleruuya
Basserafi bakkerubi
N'obuyinza obw'omu ggulu

Aleruuya Aleruuya
Aleruuya Aleruuya Aleruuya

Mutukuvu Mutukuvu
Mutukuvu Omugabe
Aleruuya Aleruuya
Mukama ow'eggye lyonna
Kitiibwa kyo kyala wonna

Aleruuya Aleruuya
Aleruuya Aleruuya Aleruuya

Ekibiina ekya batume
Ekyayatiikirira ennyo
Aleruuya! Aleruuya
Ab'ekibiina ekirungi
Ekya Banabbi ab'edda

Aleruuya Aleruuya
Aleruuya Aleruuya Aleruuya

Abattibwa ku lwaYesu
Nabo bayimba ettendo lye
Aleruuya! Aleruuya!
Ekkanisa entukuvu
Mu nsi zonna ekwatula

Aleruuya Aleruuya
Aleruuya Aleruuya Aleruuya

Kitaffe ggwe omukulu ennyo
Omwana wo ow'ekitiibwa
Aleruuya! Aleruuya!
N'omwoyo Omutukuvu
Obusatu obw'ekitiibwa

Aleruuya Aleruuya
Aleruuya Aleruuya Aleruuya



Credits
Writer(s): Geistliche Kirchengesang Cologne
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link