Byetukuwa Biva Gy'oli

Bye tukuwa biva gy'oli
Newankubadde nga bingi
Bibyo byonna bye tulina
Birabo by'otuteresa

Otuwe ekisa tubeerenga
Abawanika bo abeesigwa
Nga twesolooza n'omwoyo
Ku bintu bye tuli nabyo

Amawanga gonna ag'omu nsi
Geetaga nnyo Omulokozi
Abantu be yafiirira
Bawaba era basaasaana

Gy'emirimu gyaffe fenna
Okukomyawo abakyama
Okunoonya ababula, era
Okujjanjaba abafiiriddwa

Bw'atyo Yesu bwe yakola
Ne yeewaayo okubawonya
Naffe tumugoberere
Aboonoonyi balokoke

Yesu otuyigirize
Ebyo bwe bikukolerwa
Fenna otunyiikize wonna
Okugaba n'okwesolooza



Credits
Writer(s): Henry Baker
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link