Katonda Yagaba Eggye

Katonda yagaba eggye
Okulwana n'ebibi
Omugabe we ye mwana we
Musajja we y'ani

Akwata omusaalaba gwe
Ayita neYesu
Assekimu n'ennaku ze
Musajja we y'oyo

Ng'oli gwe bakuba edda
Ku lwa Mukama we
Bwe yali ng'abasabira
Baali balabe be

Baamutta ng'afukamidde
Ye ng'alabaYesu
Bwe yali ng'ayimiridde
Okumulwanirira.

Eggye eddungi ery'ettendo.
Ery'abajulirwa
Abaafiirwa mu muliro
Era ne ku miti

Mu bunnya bw'empologoma
Bangi baasuulibwa
Era baabatta n'empiima
Naye ne baguma

Eggye eddungi ery'abantu
Abakulu n'abato
BeeyanzaYesu n'essanyu
Leero ne bulijjo

Mukama waffe, tusaba
Otuwe ekisa kyo
Ennaku bwe tuziraba
Twesige amaanyi go



Credits
Writer(s): Jeremiah Clarke
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link