Mukirize

Bizibu bingi ebitujira munsi
Era buli lwebizze twekanga
Mitima netwebuza
Oba Mukama alaba
Kizikiza nekikwata mundda
Abangi netunafuwa mu mwoyo
Abamu netukwatirilako
Nga naye era kubusabusa

Mukirize Yesu
Mwekwate muwe ebyagaana
Ebyakukaabya luli nebyo tobilekaayo
Kubanga abisobola
Entalo zolinna zimuwe yanazilwa
Gwelinda buwanguzi
Ebilabika nga ebitasoboka mu buntu
Mu Yesu bisoboka

Olwo byonna nga binyinyitidde
Magezi nga gatubuze wonna
Lusozi nga lugulumidde era nga tulaba tuwangudwa
Mukama olwo nasituka
Ayogere ddobozi liri epomerevu
Eri omwoyo gwange agamba toli wekka

Tulabirawo ebizibu
Ebyaliwo bifuuse lugero
Ebyatutiisa netwenyamira
Mpaawo wadde byetulabako
Mitima netusanyuka
Olwo tukakasa nti Katonda waffe asobola
Naawe mwesige olilaba amanyi ge



Credits
Writer(s): Segawa Andrew
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link