Ekisakyo

Omukono gwa yesu ngulabye
Gumberedewo mubulumi
Mukusoomozebwa okuuungi
Nebikemo ebinuuumbye
Olutalo lwendwadde enzito
Amabanja geddwaliro wasasula
Namuwaki mukama okujjako kukwebaza

Ekisaaakyo mukama kintikuddehee akazito
Ekisaaakyo kyekindeso kwebaza mumasogo
Olubengo olubadde luntudde mukifuba
Olutikudde ndabirawa
Ekisaaaakyo mukama nkilabye olwaleero

Nange mbadde bubi mukama
Nga emikwano nenganda byankyawa
Nganafuka kivume gyebali
Olyokuba nali mubeera nga nzibunyo
Gwe eyayabamba Petero kululi
Oyimireddewo kulyange
Nejerezedwa ndiwaddembe
Kyekindese okukwebazaaa

Tunayogera tutya kabaka
Tunayimba tuya oluyimba
Ffe abalibaka maziga
Bukedde akasana kesanyu kavuddeyo
Enjegere zomubi ozikutudde
Okuswala kwaliko tekutendwa
Ogulumizibwe kabaka ekitibwakyo kikuddire.



Credits
Writer(s): Segawa Andrew
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link