Kati nzize

Ssebo Lule ntuuse
Nneyanjule mu butongole
Ndi mutontomi
Naye nkuba n'abafuzi abalimba
Singa ompa enkoni
Bye nkola si kinyumu
Nti buli ayagadde asembera
Nze ngutwala nga mulimu
Ebirowoozo kwe bikeerera
Kitwala ebbanga ddene
Okulya ku byengera
Ndi muti ogubala ebitaala
Kati nninze nseenene
Kati nninze nsi enoge
Kati nzize
Kati nzize
Kati nzize

Ke kaseera abatontomi baake
Okukira ku njuba
Bw'otompuliriza wakiri ndikusuna
Nkulumbayo mu nju gy'osula
Nga mukalakaasa
Ani alikutaasa
Nga ne gavumenti eri ku byayo?
Ggyawo naawe ekyeejo
Mbu bino tebikukwatako
Omutontomi bw'akonkona
Ggulawo oluggi nga tokankana
Nonye kifo ku mmeeza
Ate ompa kikopo kya buugi?
Kati nzize
Kati nzize
Kati nzize



Credits
Writer(s): Ssebo Lule
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link