Abatontomi

Nyiriri nnyingi nninga nsingo-biseera
Bye nduka bino bebuuza gye mbiggya
Asitunkana bw'olidda n'omuddo
Omuti olisanga gwagwa n'embazzi
Ebinva mu kamwa bya mugaso ng'amazzi
Bw'otega amatu owona olufu gy'ogenda
Amaaso g'olina z'engero za bajjajja
Bw'akugambako n'ozimba nga ttimba
Ery'omukulu awaddugala ate ye ttaala
Ow'omululu ofiiriza bingi nno eggwanga
Okweyaguza oluggyo gwe eyo n'ogejja
Tonkuba sasi nkyalojja nkyaleeta
Kambisuuleewo nga nnyinizo oba Nnyanzi
Sitera kulwana mpozzi nga onnyiizizza
Amaanyi ge nnina bwe gagaana seekooya
Engoye okuzeggyamu ebidde sibirinda
Si speech day nti onfuuwe ka Soda
Bbaasa mu ngalo nga muzeeyi tonjooga
Bw'owozawoza osaana nno obwa looya
Ng'omusaala gwo gw'osalawo z'onnewa
Suulaako ebbali ku nsimbi z'oyoola
B'oziwa nsiri bwe banuuna tebakoowa
Obanga mugezi n'obuuka ab'emoola
Abeesekereza abo badduke busekerezi
Bw'ofuna essavu ojjukiranga eb'enjuyo

Abatontomi ku luno tuzze kuwamba
Mwesibe bbiri tetukutte na mizinga
Naye tukompola tusinga ne Kyagulanyi
Bbaasa mu ngalo ffe tujooga tetusaaga
Sabula lwaki wekoza? N'omuziki tukuba
Katugutyabule ne jjajjawo k'anyumirwe
Ne bw'aba mwagalwa mugambe kyatutondebwa
Teyandisubiddwa nga ffe abatambuza enjuba

Nyiriri nyingi okubala olonda muwemba
Nze okusemba wakiri nsula nga njiiya
Tompita zolo bw'ompulira nga mpakala
Nsomba byama byange biyite mu nsingo
Ab'emize emibi bavumaganya amatumbi
Ng'ate bw'okola okirako nno ow'enkumbi
Bye mbala bino nfukiridde ku ka bwino
Obwongo bwesera aga ccaayi tegalindwa
Eradde mmamu nnyoge anti nze mulindwa
Enkonge zaamera ku mikono gy'abayiiya
Eteeka lyatulya nga kasooli mu mashiini
Bangi be ndaba abekweka mu maddini
Nga ekko ku mitima betaaga ka Vim
Emyoyo tusuza anti Kafeero yabagamba
Nampawengwa aa aa nze ebyo sibiriimu
Bw'ombuuza gye nsula ke kannya aka dduulu
Enduulu zaayita ab'e Bule n'e Bweya
Nga abatontomi beddizza ensi eno
Baamera butiko buli gy'ozza amaaso
Nga emijoozi ke kasana ak'okumakya ako



Credits
Writer(s): Ssebo Lule
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link