Maama Yankoba

Maama yankoba
Osiima ky'olina
Okungula nnaku
Bw'okiina atalina
Tulo-tulo otungi
Nsulo omuva obwavu
Entuuyo z'olirya
Ng'azimbya kannyama
Ate ezo enkaayana
Zizimba nsonda-nnya
Tozimba mutima
Bw'osangayo akkira
Kola buteddiza
Obeere wa nkizo
Kuba ssebo Awagwa ekku: tewabula bulondebwa
Si yekka oyo akulembera
Nti ye muwanguzi
Kwiso-bando zannya
Ovumbula birootobyo
Ky'osiga ky'okungula
Ssekeba yateeba baaba
Wewale emize emibi
Okubba n'okukumpanya
Omusajja alaga by'akoze
Si nkindo mu mpale
Busungu bufuge
Tofuuka nga eky'oku ttaale
Kerere omungi waaki
Okubagane nga ekikebe
Mmanyi nti munfuna
Vere nga ndi ku mulamwa

Maama yankoba
Maama yankoba
Maama yankoba nti tyepanka
Maama yankoba
Maama yankoba
Maama yankoba tiwankawanka
Maama yankoba
Maama yankoba
Maama yankoba nti tyepanka
Maama yankoba
Maama yankoba
Maama yankoba tiwankawanka

Nkaluba nkaluba nninga ekyuma
Nsabula beat nsinga Afande
Nkumba nsirise nga atalina jjimbi
Ntakula nkwokye tonyumiza ttaabu
Sole nnetonze naye tonjooga
Ngabula lwe nfunye enyingi
Semmalamu lwa nsimbi
Emmimbi ze ntemye mpanvu
Ezo zirimponya obwavu
Owoloma ki olifa otudde
Wampolo aluma endyanga roarrr
Suula suula ggwe ennanga
Olyejjusa okuta obudde
Tompa katebe onninze
Yadde olwendo lw'amazzi
Mpagala maanyi ga bwongo
Singa mbazzi si y'ewaata ettooke
Lwakya nange ne nzaalwa
Kati mpiso ate ze mpanda
Noonya wange gwe ntunga
Empewo eno y'enzunza
Byayita ebyo kanziike
Gye mpita mbe wa ddembe
Sonyiwa era weerabire
Ekyo maama yankoba

Maama yankoba
Maama yankoba
Maama yankoba nti tyepanka
Maama yankoba
Maama yankoba
Maama yankoba tiwankawanka
Maama yankoba
Maama yankoba
Maama yankoba nti tyepanka
Maama yankoba
Maama yankoba
Maama yankoba tiwankawanka



Credits
Writer(s): Ssebo Lule
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link