Topapa

Towalabuka ojja kumenyeka
Nga kulwala ki mukenenya
Mmaanyi gawaga vva ku balaba
Toli kyuuma toli Schwarz
Oyisa tosabye na ffaasi
Nga emmotoka yo terina gaadi
Amagumba ebyo bitoogo
Bitoogo ebirimu omunnyo
Lwaki ovugisa effujjo
Empisa tezikoma mu nju yo
Ojja kusalibwa bitundu
Kugimusa luguudo nga oyiro
Ovudde mayiro obulamu bwo lugendo
Ggyawo ate ekyeejo
Osiibula ensi eno
Ate ab'eka eyo obalekere obulumi

Gwe tambula mpola mpola
Take it easy
Obulamu si bwa kupapa
Genda mpola mpola
Tambula mpola mpola
Take it easy
Buno obulamu si bwa kupapa
Genda easy

Topapa kukuba kadaali
Si misinde nti midaali
Olye n'amabanja puleesa
Kuliisa abangi emiceere
Ensawozo olunaku olw'enkya
Bambi laba miwulenge
Gwe ate omusomi ka maama
Nedda topapa kuzaala
Onoonya kudaaga onoonya
Kulwala obuswavu okwo
Tolina busobozi nti ofe ku mwana
Okyali bbujje nnyo
Omukulu ne bw'aba atudde
Akusinza eriiso kimanye ggwe
Wulira ensimbi tezirikutwala
Ofiirwe obulamu otyo

Gwe tambula mpola mpola
Take it easy
Obulamu si bwa kupapa
Genda mpola mpola
Tambula mpola mpola
Take it easy
Buno obulamu si bwa kupapa
Genda easy

Tokola ebikuswaza bakulabe
Oveeyo mu bwangu nga Capt. Dollar
Bino eby'obuyiiya bitwala ebbanga
Myaka na myaka obumba bigambo
Oyiga kukumba nga oli ku beat
Temuli kumyansa nti oliko ekitambo
Olaba obulango bulwawo okukwata
Obudde bukwate osibye essaawa
Osiibye otudde ofumba kayimba
Lumu balikusinza
Anoonya ssente tokozesa bulimba
Ofuula ebibalo okyuusa lisiiti
Olya za mmaanyi
Olubuto lugezze Corona kibina
Lumu balikufuna nga oyita mu kituli
Ofunye ga bbule tompa ssente



Credits
Writer(s): Ssebo Lule
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link