Simanyi

Simanyi oba essimu gye nkwata
Lulikya nga ate y'enketta
Simanyi birungi biri mu kwetta
Wadde ensi eno esomooza
Simanyi oba emmere bw'enkeeta
Nga olwo ngiwayo ate ebyokya
Simanyi oba bino bye ndoota
Siribulira eyo mu kawompo
Simanyi oba engolo ku mmeeza
Ziruma ekifo omuti ogwo mwe gwava
Simanyi oba ensolo zeteesa
Zikaabe zinyiize abazirunda
Simanyi na bungi bwa nnyumba
Ziri mu nsi eno nnewuunya
Simanyi tulo njuki tw'ekomba
Obudde okuziba nga ezunga
Simanyi na buuma bwe ndidde
Mu kawunga ndiwona kkansa
Simanyi na bungi bwa ppamba
Omuva essaati oba ekkooti
Simanyi oba esaala empanvu
Zikuba obutuli mu bbaati
Simanyi oba eyayiiya eddaala
Yalaba ekyo kye yali anoonya

I don't know it all
Truth is I don't know a lot
All I know is imma learn
If I keep an open mind yeah
I don't know it all
Truth is I don't know a lot
All I know is imma learn
If I keep an open mind yeah

Simanyi babaka bye bankolera
Ensimbi ze bafuna nsoberwa
Simanyi oba ensi eno ekomawa
Nti kati kisenge nga bbugwe
Simanyi kusirisa ku mawuggwe
Nyonje ebicaafu bye gakutte
Tubonereze tutya basedduvutto
Abo abasobyanga ku mabujje
Simanyi oba bw'oba n'emputtu
Nti onywa emmumbwa n'okyuuka
Obuwuka mu lunaku bufa bumeka
Simanyi na kumanya ne bw'ombuuza
Simanyi oba okugiyita empuuta
Yagezaako ekalize ennyanja
Simanyi oba Uganda ey'enkya
Emanyi amabanja agagirinze
Simanyi oba Walagi awunza
Simanyi na bulumi bwa nvunza
Simanyi oba ddala bwe nsonda
Nsobola okuzimbayo ki-akeedi
Simanyi oba omwokyi wa ggonja
Taseera ssanyu anguzeeko nfa
Simanyi oba nsobola okukogga
Ne nnenkana eccuupa ya Soda

I don't know it all
Truth is I don't know a lot
All I know is imma learn
If I keep an open mind yeah
I don't know it all
Truth is I don't know a lot
All I know is imma learn
If I keep an open mind yeah

Simanyi oba nga ddala kiriba
Emirembe okudda mu Syria
Simanyi oba bw'okubwa ennyo empi
Emba ziguma nga kkoolaasi
Ki ky'omanyi ggwe ku sayansi
Atema emiti olime ekajjo
Simanyi muti gwa kuwa Bajjo
Ebigambo bye abikendeeze
Simanyi oba lumu ndisuna ente
N'egwa eri n'eruma amannyo
Simanyi oba okumansa ssente
Kiraga nti walonda nnonde
Simanyi kutuula awo ne nsirika
Nga sigudde mu by'emabega
Simanyi banywanyi bye balowooza
Mu kiseera nga teri ayogera
Omuntu bw'agamba nti onkolera
Kaba kakodyo okukuwa omulimu
Simanyi oba obusomyo bukaaba
Nga busikibwaayo mu magumba
Simanyi oba omanyi ebyafaayo
Ebituufu ebikwata ku nsiyo
Simanyi oba entuuyo mu kyeenyi
Ziraga omuliro gwa bye nfumba



Credits
Writer(s): Ssebo Lule Lule
Lyrics powered by www.musixmatch.com

Link